Song of Solomon 3

1 aEkiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange,
nalindirira emmeeme yange gw’eyagala,
ne munoonya naye saamulaba.
2Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga,
mu nguudo ne mu bifo ebigazi;
nanoonya emmeeme yange gw’eyagala,
ne nnindirira naye saamulaba.
3 bAbakuumi b’ekibuga
abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti,
“Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?”
4 cTwali twakayisiŋŋanya,
ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala.
Ne munnywegera ne simuganya kugenda,
okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange,
ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala.
5 dMbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi,
ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa nga kwesiimidde.

6 eAni oyo ajja ng’ava mu ddungu,
afaanana ng’empagi ey’omukka,
asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu,
okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
7 fLaba, kye kigaali kya Sulemaani,
ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga,
abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,
8 gbonna balina ebitala,
era bamanyirivu mu kulwana;
buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye,
nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.
9Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali
eky’emiti egy’omu Lebanooni.
10Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza,
ne wansi waakyo nga wa zaabu,
n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu;
ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala,
okw’abawala ba Yerusaalemi.
11 hMufulume, mmwe abawala ba Sayuuni,
mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule,
engule nnyina gye yamutikkira
ku lunaku olw’embaga ye,
ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.
Copyright information for LugEEEE